MUNNAKIBIINA kya NRM awangudde ekifo ky'abakyala ku kyalo Kikokiro mu Wakiso Town Council bwafunye obululu 150 ate Joyce Nalumu owa NUP n'afuna obululu 125.
Nakidde oluvannyuma lw'okuwangula, abakyala ssaako abawagizi be bamusitudde mu bbanga nga basakanya ssaako okukuba enduulu ey'olulekeleke.
Ebyalo okuli Kkona East , Kavumba, Kikokiro, Kisimbiri, Kayunga, Namusera Ssala nebirara yonna abakyala bajjumbidde okulonda.

Teo Nakidde ng'akulembeddemu abawagizibe be
Kukyalo Kikokiro, Teo Nakidde owa NRM yabadde avuganya ne Joyce Nalumu NUP era ng'okulonda kwaluddewo okutandika olw'abakyala abangi abewandiisa okulonda.
Okwaabadde okutandika ku ssaawa 5:00 ez'okumakya, kwaluddewo olw'okuba bangi baabadde bakyali mu nyiriri nga basoma mannya gaabwe.
Enjiri abesimbyewo babadde bagitambuliza ku kulaba nga basakira abakyala ssente za PDM ssaako eza UWEP okulaba nga bejja mubwavu.