Amawulire

Eyabbye essimu y'omuserikale akwasizza abalala 3 ku Cooper Complex mu Kampala

Poliisi ekutte 4 ku by'okugula amasimu amabbe ne bagakyusa mu Kampala wakati!

Eyabbye essimu y'omuserikale akwasizza abalala 3 ku Cooper Complex mu Kampala
By: Godfrey Kigobero, Journalist @New Vision

Abantu 4 bakwatiddwa poliisi ku bigambibwa nti baludde nga beenyigira mu kubba essimu ekika kya iPhone n'okuzikyusakyusa. Mu kikwekweto kino, essimu 120 ezigambibwa okuba enzibe zizuuliddwa.

 

Kiddiridde essimu y'omuserikale wa poliisi okubbibwa nga July 16,2026 ku Top City Plaza mu Kisenyi II e Kampala.

 

Richard Mugabi ye yasoose okukwatibwa okuva mu Kakajjo Kisenyi nga July 18 era n'akkiriza okugibba.

 

Kigambibwa nti yagitunze emitwalo 90 eri Juma Mugerwa alina edduka ku Cooper Complex mu Kampala era poliisi n'ezuula n'essimu endala nga July 21 ku dduuka eryo.

 

Omwogezi wa poliisi mu Kampala, Recheal Kawala, agambye nti basobodde n'okukwata abalala okuli Sumaya Mutesi ne Frank Mwesigwa wamu n'amasimu agawerako, sipeeya, laptop ne kalonda omulala.

Tags:
Masimu
Kampala
Kizimbe
Cooper complex