Amawulire

Poliisi ekutte agambibwa okukulira abagula amasimu amabbe ku Cooper Complex

POLIISI eyongedde amaanyi mu bikwekweto okukwata abeenyigira mu kubbba amasimu

Poliisi ekutte agambibwa okukulira abagula amasimu amabbe ku Cooper Complex
By: Eria Luyimbazi, Journalist @New Vision

POLIISI eyongedde amaanyi mu bikwekweto okukwata abeenyigira mu kubbba amasimu bw’ekoze ekikwekweto mw’ekwatidde agambibwa okukulira abagula amasimu amabbe naddala ekika kya Iphone  n’agakyusa ebigakwatako wamu n’abo abagamutwalira n’ezuula  amasimu 127  agateeberezebwa okuba amabbe.

 

Kino kyaddiridde omubbi okulabirizza omuserikale n’amubbako essimu ye ekika kya Iphone n’agitwala n’agiguza omu ku bagakuusa nga yeeyambisa ebyuma ebisobola okusoma byonna ebikwata ku ssimu oluvannyuma n’addamu okugatunda.

 

Omwogezi wa poliisi mu Kampala némiriraano, Rachael Kawala yagambye nti abaserikale ku poliisi e Katwe bagenda mu kikwekweto okubaako gwe bakwata mu Kisenyi ku kizimbe kya Top City Plaza wabula Richard Mugabi omu ku babbi aboolulango n’abba essimu mu mmotoka n’adduka n’akwatagana ne munne Frank Mwesigwa ne baginoonyeza akatale.

 

Yagambye nti Mugabi ne Mwesigwa essimu bagitwala ku Cooper Complex ne bagiguzza Juma Mugerwa amanyiddwa nga Dan ku mitwalo 90 ekyavuddeko poliisi okutandika okunoonyereza okwavuddeko okukwata Mugabi n’ayogera gye baagitunze.

 

Yategeezezza nti oluvannyuma lw’okukwata Mugabi abaserikale ku poliisi e Katwe baamukunyizza n’ayogera munne Mwesigwa naye eyakwatiddwa nga July 21 2026 ne bakulemberamu abaserikale ne babatwala ku dduuka ku Cooper Complex we baatunze essimu eno.

 

Yagambye nti ku dduuka baasanzeewo omukazi Sumayiya Mutesi muganzi wa Mugerwa era nga yasangiddwa aliko amasimu ge yabadde akyusa ebigakwatako ng’alina ekyuma ky’akozesa okusobola okusiimuulamu n’abba ebintu ebirala.

 

Yagambye nti abaserikale baakutte Mutesi ne bamukunya wabula n’agana okwogera Muganzi we Mugerwa gy’ali kyokka bano be babaako omuvuzi wa bodaboda gwe baakutte n’abatwala e Bunnamwaya Mugerwa gy’asula wabula ne basanga nga ennyumba nsibe ne bamukukunula mu mmotoka ye mwe yabadde yeekwese.

 

Mu mmotoka ya Mugerwa abaserikale baasanzemu amasimu 120 agateeberezebwa okubeera amabbe g’agula kw’abo abagabba ku bantu ne bagamutwalira n’addamu okugatunda ng’amaze okugakyusa.

 

Okunoonyereza poliisi kwe yakoze yakizudde nti Mugerwa agula amasimu eikya kya Iphone zokka era ng’agula zirimu layini nga nazo baziteeka mu kyuma ne baggyako ssente eziri ku Mobile Money.

 

Kawala yagambye nti agamu ku masimu agaasangiddwa ne Mugerwa okukakasa nti gaabadde mabbe agamu kugo gaabaddemu ebifanaanyi by’abannyini go.

 

Yasabye abantu bonna ababbibwako amasimu gaabwe nadala Iphone bagende ku poliisi e Katwe bakeberemu agaabwe.

 

Yagasseeko nti era poliisi ekyagenda mu maaso n’okunoonyereza okusobola okukwata abalala abeenyigira mu kugula amasimu amabbe nga mu bbanga lya wiiki bbiri ekoze ebikwekweto ku Cooper Complex ne ku bizimbe okuli ; Mutaasa Kafeero, Kirumira Towers , Kalungi Plaza ne  Kizito Towers ebigambibwa nti abamu kubakolerako be bamu ku bagula n’okutunda amasimu amabbe.

Tags:
Masimu
Cooper complex
Mugerwa
Iphone
Poliisi