Amawulire

Poliisi etongozza amaato gaayo

OMUDUUMIZI wa Poliisi mu ggwanga Abass Byakagaba akubirizza abasirikale okukola buli kisoboka okulaba nga balwanyisa obubenje ku nguudo ne ku mazzi.

Amaato ga Poliisi
By: Sulaiman Mutebi, Journalist @New Vision

OMUDUUMIZI wa Poliisi mu ggwanga Abass Byakagaba akubirizza abasirikale okukola buli kisoboka okulaba nga balwanyisa obubenje ku nguudo ne ku mazzi.

Bino abyogedde asinziira ku bayizi b'essomero lya King David abafira mu Kabenje e Kapchorwa bwabadde atongoza amato ga police y'okumazzi 5 ku kitebe Kya Poliisi y'okumazzi e Kigo.

Abas Byakagaba ng'ayogera

Abas Byakagaba ng'ayogera

Okusinziira ku akulira Police y'okumazzi CP Kirungi Sulaiman agamba nti police yagula amaato 9 nga bakaleetako 5 ng'amalala agenda kujja omwezi ogujja  Agamba nti kino kigenda kubayamba nyo mu kukola emirimu gyabwe ku mazzi.

Agamba nti amaato gano gagenda kwongera okunweza eby'okwerinda ku lake  Albert. Asabye babayambeko ku mbeera ya basirikale ba marine nadasa abasirikale we basula ne biffo amato we gasimba.

Agamba nti balina engine 13 ezitasobola ku Kanika era ebiseera ebisinga bwewabeerawo obuzibu balina okupangisa engine.

 Abas Byakagaba asabye abasirikale okusala amagezi okulaba nga bagendezza ku bubenje obubeera ku ngudo.

Omuduumizi wa Poliisi mu ggwanqga ng'ayogera

Omuduumizi wa Poliisi mu ggwanqga ng'ayogera

Asabye abasirikale okukola buli kyebasobola okukuuma abantu n'ebyabwe era nga bagenda kukola ekisoboka okugula n'okutendeka abasirikale okutuka ku mutendera ogwetagisa. Asabye abasobola okwegata ku Poliisi okukuma edembe.

Asabye abantu okwewala okutuka akabindo ku mazzi ne ku ngudo. Agamba nti gyebugya agenda kutekawo etendekero lya abasirikale b'okumazzi.   bisimbako esira

Tags: