Amawulire

Nnamwandu wa Kafeero alina abaana DNA be yawandula awangudde obwa nnaabakyala

ABAKYALA bayiiridde omu ku bannamwandu ba Kafeero akalulu. Ono y’omu ku balina abaana abaawandulwa DNA.

Nnamwandu wa Kafeero alina abaana DNA be yawandula awangudde obwa nnaabakyala
By: Moses Lemisa, Journalist @New Vision

ABAKYALA bayiiridde omu ku bannamwandu ba Kafeero akalulu. Ono y’omu balina abaana abaawandulwa DNA.

 

Kyokka ate owa Nup mu Kiggundu zzooni avudde mu lwokaano ku ssaawa envannyuma ng’agamba nti abalonzi abamu baabadde si ba mu kitundu

Immaculate Namata Namwandu Wa Kafeero Ng'abantu Bamusimbyeko Mu Ssebina Zooni

Immaculate Namata Namwandu Wa Kafeero Ng'abantu Bamusimbyeko Mu Ssebina Zooni

Mu Ssebina zzooni mu muluka gwa Makerere III, Immaculate Namata 46 omu ku bannamwandu ba Kafeero amanyikiddwa nga maama Mark azaala John Mark Kafeero yawangudde ku bululu 110 ate gwe yabadde avuganya naye Hamida Nansubuga yafunye 19 ng’ono yagambye nti abalonzi abamu baavudde mu Kiggundu zzooni abalala mu Kibe ne basimba ku mugongo gwa Namata .

 

Namata yagambye nti agenda kufuba okulaba ng’ayogera n’abafumbo bakomye obutabanguko mu maka kuba mu bbanga ly’abaddeko ng’akola nga nnaabakyala ensonga y’obutabangulo mu maka abadde agifuna nnyo  ekivuddeko abaana bangi okwonooneka.

 

Ate mu Kiggundu zzooni owa Nup Amina Nansubuga yayambadde bulungi gomasi n’agenda mu kifo we baalondedde ng’alina  n’abamu ku bawagizi wabula bwe yatuuse n’abala nga Esther Babirye Kibuuka  owa Nrm alina abawagizi bangi.

Madiina Nampijja Omu Ku Beesimbyewo Mu Kiggundu Zooni Ng'atunulira Abalonzi Engeri Gye Baamuliddemu Olukwe Ne Batamuwa Yadde Akalulu.

Madiina Nampijja Omu Ku Beesimbyewo Mu Kiggundu Zooni Ng'atunulira Abalonzi Engeri Gye Baamuliddemu Olukwe Ne Batamuwa Yadde Akalulu.

Nansubuga yatandise kugamba nti abamu ku bakyala abaabadde bagenze okulonda tebasula mu kitundu oluvannyuma abawagizi baamugambye abiveemu naye bw’atyo n’atambula n’agenda olwo abaakuliddemu okulondesa ne bagenda mu maaso n’okubala abalonzi abaabadde basimbye ku Babirye.

 

Isma Nsanja omumyuka wa ssentebe mu Ssebina zzooni yagambye Immaculate Namata nnamwandu wa Kafeero yabadde akola nga nnaabakyala wa ssebina zzooni okuva olw’oyo eyaliko okusenguka mu kitundu, Nsanja yagambye nti okulonda kwabaddemu ensobi kuba akalulu kaabadde ka bakyala naye abaserikale abaasindikiddwa baabadde basajja ng’obwedda bakwata abakyala mu ngeri ebatyoboola .

Tags:
DNA
Kuwandula
Kafeero
Nnamwandu
Baana