BULI loole ya kasasiro etuusibwa mu kifo kya KCCA omuyiibwa ebisaaniiko eky'e Buyala ku luguudo lw'e Mityana esooka kupimibwa buzito bw'etisse nga tenatikkulwa.
Jackson Kisekka kalabaalaba w'ekifo kino mu kitongole kya KCCA yagambye nti okupima kasasiro kigenda kuyamba kinene nnyo mu kuteekateekera ekifo kino eri ebiseera byakyo ebyo mu maaso.
Yagambye nti buli lunaku kati bafuna ttani za kasasiro ezukunukkiriza mu 1,500 ng'ava mu Kampala n'ebimu ku bitundu ebyetoolodde. Yagambye nti biseera by'akasana kasasiro atera okukendeera kuba abamu bamwokya wabula mu nkuba ne yeeyongera obungi.
Daniel Nuwabiine omwogezi wa KCCA yagambye nti ekifo kino nga kiwezaako yiika 230 nnamba kiri mu nteekateeka ya kusuumusibwa nga kasasiro asobola okukolebwamu ebintu eby'enjawulo.
Yagambye ettaka lyonna baamala okuliifunira ebyapa nga biri mu mannya ga KCCA era nga n'ekitongole kya NEMA kyabawa olukusa okuyiwawo kasasiro