Amawulire

Ab'omu Kirolokole basabye KCCA obutaasa ku kasasiro n'ebiku!

ABATUUZE b'e Kawempe mu Kirokole zooni basabye ekitongole kya KCCA okubayamba mu kugonjoola ekizibu kya kasasiro gwe bagamba nti avuddeko eby’obuyonjo okusereba. 

Ab'omu Kirolokole basabye KCCA obutaasa ku kasasiro n'ebiku!
By: Eria Luyimbazi ne Racheal Nankya, Journalist @New Vision

ABATUUZE b'e Kawempe mu Kirokole zooni basabye ekitongole kya KCCA okubayamba mu kugonjoola ekizibu kya kasasiro gwe bagamba nti avuddeko eby’obuyonjo okusereba. 


Baagala KCCA ebasindikire mmotoka ezisobola omutwala n'okussaawo enkola y'okufuuyira ebiku ebisusse. 

Omutuuze ng'aggya kasasiro mu mufulejje. Ku ddyo ye Hajjati Buzeki

Omutuuze ng'aggya kasasiro mu mufulejje. Ku ddyo ye Hajjati Buzeki


Amyuka Meeya we Kawempe nga naye ssentebe wa Kirokole zooni, Joseph Kibuga yagambye nti abatuuze bali mu kusoomoozebwa olwa kasasiro asusse nga kino kivuddeko embeera y'obuyonjo okusereba abamu okutuuka okumusuula mu mifulejje ne gizibikira.


“Mu Kirokole wano twesanze mu kusoomoozebwa nti kasasiro asusse okubeera mu bantu nga kino kivudde ku kubeera nti abalina okumutwala balwawo bwe tubuuza bagamba nti mmotoka ntono kati tusaba KCCA etunule mu kino kuba obucaafu bususse,” Kibuga bwe yabuulidde akulira KCCA, Hajjati Shalifa Buzeki eyabadde akulembeddemu Weyonje mu kitundu kino. 


Yagambye nti mmotoka ezitwala kasasiro zirwawo okuyita mu kitundu kino okusobola okumutwala nga kino kivaako abamu ku batuuze okumusuula buli we basanze nga mu myala n'emifulejje ne gizibikira olwo enkuba bw'etonnya amazzi ne gayita ku ngulu ne gabo¬mola enguudo. 


Yategeezezza nti okuwana ekizibu kya kasasiro KCCA ebasindikire mmotoka eziwerako zisobole okumusomba ekizibu kino abatuuze bakiwone.


Akulira KCCA Hajjati Sharifa Buzeki yategeezezza abatuuze nga KCCA bwe yafunye ssente okuva mu gavumenti okugula mmotoka ezisomba kasasiro 5 bazongere ku 34 eziriwo.

Tags:
Amawulire
KCCA
Biku
Kirolokole
Kawempe
Sharifah Buzeki