Amawulire

Abeetabye mu bulungibwansi e Luzira bawanjaze ku bimotoka bya kasasiro

Abeetabye mu bulungibwansi e Luzira bawanjaze ku bimotoka bya kasasiro

Eyali mmeeya wa Nakawa Paul Mugambwa yoomu ku beetabye mu kuyonja eggwanga
By: Huzaima Kaweesa, Journalist @New Vision

ABATUUZE  mu Muluka gwe Luzira nga bali wamu n’abakulembeze babwe nabo bakedde kwenyigira mu bulungibwansi eyalangiriddwa okwetoloola eggwanga lyonna kyokka nebawanjagira KCCA ebongere ku bimotoka ebimuyoola.

Abatuuze nga bali wamu n'amagye nga bakola bulungibwansi

Abatuuze nga bali wamu n'amagye nga bakola bulungibwansi


Bano nga bakulembeddwa Kansala atwala ekitundu kino, Gorge Willington Kajubi  bategezezza nga ekizibu ky’obutaba na mmotoka zimala okuyoola kasasiro bwekisibye obucaafu mu kitundu nga n’oyo abeera akunganyiziddwa abatuuze ate avundira mu kitundu.

Amagye nga gali wamu n'abatuue nga bakola bulungibwansi mu Luzira

Amagye nga gali wamu n'abatuue nga bakola bulungibwansi mu Luzira


Kajubi ategezezza nga n’abatuuze bwebasana okwekolamu omulimu ku nsonga ya kasasiro naddala nga basunsula oyo avunda ku oyo atavunda.
Eyaliko mmeeya we Nakawa Paul Mugambe asiimye nnyo entekateeka ya Gavumenti ey’okweyonja n’ategeeza nga kino bwekikolebwa okwongera okutumbula eby’obulamu bya bannansi.

Abamu ku betabye mu bulungibwansi e Luzira

Abamu ku betabye mu bulungibwansi e Luzira


Asabye abatuuze bulijjo okusitukirangamu nga waliwo entekateeka nga zino kubanga zibagasiza wamu zonna nga tezirina kubeeramu byabufuzi byonna.

Wak 9

Wak 9


Akulembeddemu aba amagye ga UPDF okukola bulungibwansi mu kitundu kino Rt. Moses Okiror asiimye nnyo bonna abetabye mu ntekateeka eno n’abasaba ne kumulundi omulala okusitukirangamu ku lw’obulungi bw’eggwanga lyonna
Tags: