BANNAMAKOLERO bawagidde entegeka za gavumenti ez'okutongoza olunaku lwa Saturday olusemba buli mwezi okusobozesa abantu okwetaba mu kuyonja eggwanga lyonna.

Akulira ekibiina ky'abannamakolero David Bahati ng'akulembeddemu team y'abannamakolero okukola bulungibwansi

Bannamakolero nga beetabye mu bulungibwansi
Wabula atwala ekibiina ekigatta bannamakolero, Dr. Ezra Muhumuza agambye nti bweyatutte okwemulugunya kw'abannamakolero eri minisita atwala amakolero, David Bahati, yakitegedde nti gavumenti yagenderedde kaweefube wakuyonja ggwanga.
Yagambye nti oluvannyuma baakisembye ne bakkaanya okukkiririza mu kaweefube ow’enjawulo mu bannamakolero okuyonja yonna mu bifo gyebakolera okutangira okuguza abantu ebiva mu bifo ebicaafu. Agambye nti balangiridde ekikwekweto okukunga bannamakolero wonna mu ggwanga okweyonja n’ebitundu ebibeetoolodde okusinga abantu abalala.

Bannamakolero nga beetabye mu bulungibwansi

Bannamakolero nga beetabye mu bulungibwansi
Agambye nti amakolero geyongedde mu ggwanga nga gakola ebitundu 27 n’obutundu 4 ku buli 100 ku byenfuna byeggwanga kyokka balina okulaba nti abantu byebagya mu makolero biri ku mutindo nga bakuuma obutonde bw’ensi.
Orodi akulira Uganda Baati yasabye gavumenti eteekewo etteeka ekkakali okukwata n’okusiba abamansa kasasiro, gweyagambye nti avaako amataba agajojobya amakolero ga Industrial Area.