Amawulire

Poliisi etebuse olukwe lw'abatuuze abaagala okulonda omulundi ogusukka mu gumu!

POLIISI egudde mu lukwe lw’abalonzi abeewandiisa emirundi ebiri n’eyisa ekiragiro okulonda mu zzooni zonna kubeewo mu budde bwe bumu.

Poliisi etebuse olukwe lw'abatuuze abaagala okulonda omulundi ogusukka mu gumu!
By: Moses Lemisa, Journalist @New Vision

POLIISI egudde mu lukwe lw’abalonzi abeewandiisa emirundi ebiri n’eyisa ekiragiro okulonda mu zzooni zonna kubeewo mu budde bwe bumu.

 

Mu lukiiko luno, Amos Betungura akulira poliisi y’oku Kaleerwe  mwe yasisinkanidde abeesimbyewo ku bwa ssentebe bwa zzooni 6 mu muluka gwa Makerere III e Kawempe okuli Kiggundu zzooni, Mayinja , Kibe, Dobi, Good Hoop ne Ssebina zzooni.

 

Ekitegeddeko nti abavubuka babadde baluse olukwe bwe bamala okulonda mu zzooni emu badduke bagende mu ndala nayo balonde nga bakozesa omukisa gwa langi abalondesa gye basiiga ku lugalo okukakasa nti okuli mu kitabo kya kakiiko k’ebyokulonda .

 

Bakaanyizza wamu n’abeesimbyewo nti okusoma amannya g’abantu kwakutandika ssaawa 1:00 ey’oku makya, kubeewo ku ssaawa 4:00 kumakya mu zzoona zonna okwewala akavuyo era kufundikirwe ku ssaawa 5 okusinziira ku kakiiko k’ebyokulonda we kalagira.

 

Amos Betungula OC w’oku Kaleerwe yagambye nti baakizudde nga waliwo abatuuze abeewandiisa mu zzooni bbiri n’ekigendererwa ky’okulonda emirundi ebiri kyokka n’ategeeza nti kino tekijja kusoboka kuba zzooni zonna zigenda kutandikira ku budde bwe bumu.

 

Ssande Mubiru Bulevu akulira emirimu mu ggye lya Reserve Force e Kawempe yagambye nti zzooni eri muluka gwa Makerere III ziriraanaganye nga zonna zaawulwa na myala nti era osanga omutuuze ng’akolera mu Ssebina ng’asula mu Dobi nti kino bangi bazze bakikozesa okulonda emirundi ebiri nti kyokka kino tekigenda kusoboka kuba ekyasaliddwawo kyakubayambako obutaleera kavuyo

 

Tags:
Ssentebe
Kulonda
Lemisa
Lukwe
Poliisi
Kutebuka