OMUVUBUKA avudde mu mbeera, n'akuba munne ejjinja n'ebikonde ebimusse, bwe bafunye obutakkaanya ku buwagizi bwa bassentebe ba LC1 abeesimbyewo.
Kigambibwa nti bano bombi nga bali e Kisenga, bafunye obutakkaanya mu buwagizi mbu ono kwe kukwata ejjinja n'alimukuba ku mutwe n'amukuba n'ebikonde n'amuleka ng'azirise n'abulawo.
Omwogezi wa poliisi mu Rwenzori, Elly Maate, agambye nti, Masereka bamututte mu ddwaliro lya Rukoki kyokka n'afa nga yaakatuusibwa. Agasseeko nti Sowedi, bamukwatidde Bunyangabo era nga bategeka kumutwala Kasese.