Amawulire

Sipiika Oboth Oboth ne Thomas Tayebwa basbye ku buwagizi bwa Olara Otunu

SIPIIKA wa palamenti Jacob Oboth n'omumyuka we Thomas Tayebwa basabye omuwandiisi w'ekitongole ekitaba palamenti eziri mu mawanga agali ku lukalu lwa Afrika, Caribbean ne Pacific ,   (Organization of African, Caribbean and Pacific States) Moussa Saleh Batraki okukubiriza amawanga gonna agali mu mukago gano  okuwagira munnayuganda Olara Otunnu okulaba nga awangula  ekifo kya Ssaabawandiisi mu kibiina  ky'amawanga amagatte( United Nations)

Oboth Oboth n'abakungu abalala
By: Teopista Nakamya, Journalist @New Vision

SIPIIKA wa palamenti Jacob Oboth n'omumyuka we Thomas Tayebwa basabye omuwandiisi w'ekitongole ekitaba palamenti eziri mu mawanga agali ku lukalu lwa Afrika, Caribbean ne Pacific ,   (Organization of African, Caribbean and Pacific States) Moussa Saleh Batraki okukubiriza amawanga gonna agali mu mukago gano  okuwagira munnayuganda Olara Otunnu okulaba nga awangula  ekifo kya Ssaabawandiisi mu kibiina  ky'amawanga amagatte( United Nations)

Sipiika Oboth Oboth ng'ayogera

Sipiika Oboth Oboth ng'ayogera

Okusaba kuno bakukoledde ku palamenti mu nsisinkano gye babaddemu ne    Batraki oluvannyuma lw'okukyalako ku palamenti 

Otunnu munnakibiina kya UPC, okuvuganya ku kifo kino, yakakasibwa  omukulembeze w'eggwanga gyebuvuddeko era nga guno gugenda kubeera mulundi gwe ogusoose okuvuganya ku kifo kino.

Sipiika Oboth agambye nti, Otunnu ekifo kimuggwanira   olw'obumanyirivu bwalina n'obukakkamu so ng'alina obukugu obw’enjawulo  mu kutaputa ensonga ezeekusa ku mawanga n’obukulembeze.

Agamba abadde mpagi nnene mu kutandika , okulungamya n'okulambika abakulembeze omuli n'omukago ogutaba palamenti eziri mu mawanga agali ku lukalu lwa Afrika, Caribbean ne Pacific , Omumyuka wa sipiika Tayebwa yategeezezza nga pulezidenti Museveni bwafuba okulaba nga ekitebe ekikulu eky'ekitongole kizimbibwa wano muggwanga wadde nga okuvuganya ku nsonga eno ku kyali kwa maanyi

Omumyka wa Sipiika Thomas Tayebwa ng'ayogera

Omumyka wa Sipiika Thomas Tayebwa ng'ayogera

SSinga kiggyibwa mu Brussel mu ggwanga lya Belgium gye kiri, Tayebwa yalaze nti kyakuyamba okunyweza obwetwaze bw'ekitongole n'okuggyayo obulungi ebiruubirwa bya mawanga gonna agali mu kitongole.

Okuli  okutumbula enkulaakulana ey’olubeerera, okumalawo obwavu, n’okukwasaganya enkolagana ey’awamu ey’ebyobusuubuzi n’ebyenfuna n’omukago gwa Bulaaya.

Ekitongole kino, Kirimu amawanga 79 okuli Uganda, Angola, Kenya, South Africa, Jamaica, Trinidad, Samoa, Fiji n'amalala.

Batraki asuubizza okuwa Otunnu obuwagizi wabula nategeeza nga bweyandiyagadde okulaba ekibuga kye Kampala bwekitunula nga obudde buzibye.

Tags: