SIPIIKA wa palamenti Jacob Oboth n'omumyuka we Thomas Tayebwa basabye omuwandiisi w'ekitongole ekitaba palamenti eziri mu mawanga agali ku lukalu lwa Afrika, Caribbean ne Pacific , (Organization of African, Caribbean and Pacific States) Moussa Saleh Batraki okukubiriza amawanga gonna agali mu mukago gano okuwagira munnayuganda Olara Otunnu okulaba nga awangula ekifo kya Ssaabawandiisi mu kibiina ky'amawanga amagatte( United Nations)
Sipiika Oboth Oboth ng'ayogera
Otunnu munnakibiina kya UPC, okuvuganya ku kifo kino, yakakasibwa omukulembeze w'eggwanga gyebuvuddeko era nga guno gugenda kubeera mulundi gwe ogusoose okuvuganya ku kifo kino.
Sipiika Oboth agambye nti, Otunnu ekifo kimuggwanira olw'obumanyirivu bwalina n'obukakkamu so ng'alina obukugu obw’enjawulo mu kutaputa ensonga ezeekusa ku mawanga n’obukulembeze.

Omumyka wa Sipiika Thomas Tayebwa ng'ayogera
SSinga kiggyibwa mu Brussel mu ggwanga lya Belgium gye kiri, Tayebwa yalaze nti kyakuyamba okunyweza obwetwaze bw'ekitongole n'okuggyayo obulungi ebiruubirwa bya mawanga gonna agali mu kitongole.
Okuli okutumbula enkulaakulana ey’olubeerera, okumalawo obwavu, n’okukwasaganya enkolagana ey’awamu ey’ebyobusuubuzi n’ebyenfuna n’omukago gwa Bulaaya.
Ekitongole kino, Kirimu amawanga 79 okuli Uganda, Angola, Kenya, South Africa, Jamaica, Trinidad, Samoa, Fiji n'amalala.
Batraki asuubizza okuwa Otunnu obuwagizi wabula nategeeza nga bweyandiyagadde okulaba ekibuga kye Kampala bwekitunula nga obudde buzibye.