Abeebijambiya abatambulira ku bodaboda balondodde agabira aba Mobile money ssente (fulooti) ne bamutema ne bamubbako obukadde 7.
Kigambibwa nti babeera n’ebintu ebyefaananyirizza ttiyaggaasi bwe balaba abatuuze baagala okubafunza nga babafuuyiira.
Godffrey Edema 25, asula Nabweru ng’alina bakama be b’akolera okugabira aba mobile money fulooti ababbi baamutemedde Komamboga mu Kwata zzooni bwe yabadde alina ba kaasitoma b’atwalira ssente.
Baamulinze n’atuuka ku limu ku dduuka kwe yabadde atutte ssente eriri ku Clinic Road okusinziira ku omu ku bakama be. Yayongeddeko nti Edema baasooka kumulondoola nga tebannamutema .
Omwogezi wa poliisi mu kampala n’emiriraano Rachael Kawala yagambye nti poliisi ekola ekisoboka okulaba ng’erwanyisa abamenyi b’amateeka naye n’abantu balina okwefaako nga bakozesa kkufulu ez’amaanyi, okwekengera abantu be batamanyi mu bitundu n’ebirala.
Yayongeddeko nti ensonga y’ababbisa ebiso mu kitundu ky’e Komamboga bagenda kugirondoola.
Salima Nsangi omutuuze w’e Komamboga gwe baabadde batwalidde ssente yagambye nti ababbi baabadde ku pikipiki mukaaga nga buli emu etuddeko abantu babiri nga buli omu akutte ekiso nga waliwo n’omukyala wa ssaluuni eyabadde ageezzako okukuba enduulu ne bamulumba n’adduka ne yeekweka.
Yagasseeko nti omu ku babbi yakubye Edema ekikonde n’agwa wansi ne bamulagira abawe ssente n’abagamba nti abadde amaze okuziwaayo wano we baamutemedde ekijambiiya ku mutwe ne bamuggyamu obukadde 7 ku ssaawa 6:00 ez’emisana.
Grace Joanita Namaganda Kalema omuwandiisi ku lukiiko lwa Lwakwata zzooni yalaajanidde ebitongole ebikuumaddembe ku bibinja by’ababbi b’ebijambiya abatambulira ku pikipiki n’asaba wabeewo ekikolebwa mu bwangu.