Amawulire

Poliisi emukutte omusajja agambibwa okumenya ekiyungu ky'essomero n'abbamu essefuliya akawunga , ebikopo n'amasowani,

Omusajja agambibwa okumenya ekiyungu ky'essomero n'abbamu essefuliya, akawunga , ebikopo n'amasowani , poliisi emukutte. 

Omusajja agambibwa okumenya ekiyungu ky'essomero n'abbamu essefuliya, poliisi emukutte.
By: Godfrey Kigobero, Journalist @New Vision

Omusajja agambibwa okumenya ekiyungu ky'essomero n'abbamu essefuliya, akawunga , ebikopo n'amasowani , poliisi emukutte. 

Kidiridde abantu abatannamanyika okulumba essomero lya Bright Parents Junior School mu Mbale city ne bamenya effumbiro ne babba ebikozesebwa mu kufumba n'akawunga. 

Poliisi ekutte John Richard Aduket omutuuze we Asenya mu disitulikiti y'e Kumi agambibwa okuba mu kibinja ekyo ekirudde nga kitigonya e Mbale. 

Omwogezi wa poliisi e Mbale, Rogers Taitika, agambye nti abalala babiri badduse era babayigga. 

Agasseeko nti Aduket ali ku lukulala lw'abantu be babadde banoonya ku bikolobero ebyenjawulo n'obubbi mu Mbale. 

 

Tags:
essefuliya
essomero
disitulikiti