Eno eyungiddwako emikutu gya digito era Nakimuli yagibakwasirizza ku kitebe kya poliisi ekisangibwa mu kibuga ky’e Kalangala ku Lwokusatu October 12,2022 n'agamba nti poliisi yetaaga okuwagirwa ekimala n'ebintu ebigisobozesa okutuukiriza obuvunanyizibwa bwaayo.

Omubaka Nakimuli ng'akwasa abaserikale ku poliisi y'e Kalangala enkulu, ttivvi.
Olwavudde ku poliisi, Munna NUP ono Nakimuli yagenze ku kitebe ky'amakomera e Kalangala gye yayaniriziddwa James Walakira akikulembera, n'abakwasa essefuliya ennene bbiri omufumbirwa emmere.
"Ebitongole bino ebikuumaddembe bikulu nnyo mu bitundu era bwe tuba tufunye omukisa gw'okubiwereezaako, tukikola nabyo bisobole okutuweereza obulungi," Nakimuli bwe yagambye.