Abantu babiri abagambibwa okwenyigira mu bubbi bw'emmundu n'okutemula abantu bakwatiddwa poliisi.

Omu ku baakwatiddwa poliisi
Okubakwata, kiddiridde ababbi ab’emmundu nga July 14 ku Rafik Gardens mu Kiti A cell e Nangabo mu Wakiso, bwe baafumbiikirizza loole ya bbiya ne balumya ddereeva ne bakuba ne maneja wa Rafik Gardens amasasi ne babba bakaasitooma amasimu n'ebintu ebiwerako ne babulawo.

Emmundu egambibwa nti gye baakozesa
Amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala n'emiriraano ,Luke Owoyesigyire, agambye nti okuva olwo, babadde babalondoola okutuusa lwe baakutteko babiri nga bakyayigga n'abalala abali mu kibinja kino.