Ekitongole ky’ebyobulamu mu Ssaza lya Kyaddondo nga kiri wamu ne Bannalotale bategese olusiisira lw'ebyobulamu mwe bagabidde omusaayi wamu n’okuwa abantu ba Kabaka obujjanjabi obw'obwereere nga olusiisira luno lwayindidde ku ddwaliro lya Peoples Medical Hospital Gayaza mu ggombolola y'e Nangabo mu ssaza lya Kyadondo.
Rotary Club ku luguudo lw'e Gayaza ezaataddemu ssente okujjanjaba abantu ba Kabaka kubaddeko Rotary Club y'e Gayaza, Manyangwa - Nakwero, Kiwenda, Kasangati, Buwaate, Naggalama ne Kayunga.

Meeya Baker Kazibwe Nga Agaba Omusaayi

Omwami wa Kabaka amulamulirako essaza Kyaddondo, Kaggo Magandaazi Matovu ye yagguddewo olusiisira luno ne yeetaba ne mu kugaba omusaayi.
Kaggo yasinzidde wano n'ategeeza nti teri kkolero lya musaayi munsi yonna, bw'atyo n'asaba abantu ba Beene okujjumbiranga okugaba omusaayi, n'okuyamba abo abagwetaaga.


Bannalotale wano we baatongolezza kampeyini y’okunoonya ssente z’okuzimba ekyuma kya kkookolo ekizimbibwa mu ddwaliro ly'e Nsambya. Baatunze omujoozi ng'emu ku nkola eyitibwamu okusonda ssente z’okugula ekyuma kino.
Ye Mmeeya wa Kasangati Town Council, Hajji Baker Kazibwe mu kwogera kwe yagambye nti okugaba omusaayi kyamugaso nnyo eri abo abagwetaaga, era ne yeebaza n'Obwakabaka okutuusa obujjanjabi obw'obwereere eri omuntu wa wansi.
Dr Frank Nduga, akulira ekitongole ky’obyobulamu mu ssaza Kyaddondo era nga y'akulira eddwaliro lya Peoples Medical Hospital yasabye abantu okugenda mu ddwaliro lino beekebeza kkokolo wamu n'endwadde endala
Obujjanjabi obwagabiddwa ku bwereere mwabaddemu; okukebera amaaso wamu n'okugajjanjaba, okukebera Siriimu, Kookolo (Cancer wa nnabaana n’amabeere mu bakyala ne mu baami), Hepatitis B wamu n'endwadde endala.