Amawulire

Abadde asaba abantu ssente okubafunira ndagamuntu akwatiddwa RDC n'atuuyana

OMUBAKA wa pulezident e Nansana, Charles Lwanga akutte omusajja agambibwa nti abadde agufudde muze okusaba abantu ssente okusobola okufuna endagamuntu.

Abadde asaba abantu ssente okubafunira ndagamuntu akwatiddwa RDC n'atuuyana
By: Wasswa Ssentongo, Journalist @New Vision

OMUBAKA wa pulezident e Nansana, Charles Lwanga akutte omusajja agambibwa nti abadde agufudde muze okusaba abantu ssente okusobola okufuna endagamuntu.

Ono kigambibwa nti abadde asaba emitwalo ebiri ku gumu era baamukwatidde mu bitundu by’e Busukuma ekisangibwa mu munisipaali y’e Nansana.

Byaruhanga eyakwatiddwa.

Byaruhanga eyakwatiddwa.

Akwatiddwa ye Daniel Byaruhanga omukozi mu kitongole kya NIRA. Akwatiddwa omubaka wa pulezidenti ow’e Nansana, Charles Lwanga oluvannyuma lw’okufuna okwemulugunya okuva mu bantu ab’enjawulo nga bwe waliwo omukozi wa NIRA ayitibwa Byaruhanga asusse okubasaba ssente.

Kino kyawalirizza RDC Lwanga okusitukiramu era bw’atyo n’alagira poliisi emukwate.

Byaruhanga bwe yategedde nti gimuwunyidde n’atandika okwogera ebitakwatagana nga bw’agamba RDC nti ye yamukkirizisa okuyingira mu NIRA ekintu ekitaamutaasizza.

Wano RDC Lwanga alabudde abakozi ba Gavumenti okulaba nga bakola kye basaanidde okukola okusinga okutulugunya abantu ng’ekintu ekyandibadde eky’obwereere ate bo bakifunamu.

Tags:
Amawulire
RDC
Mubbi