Amawulire

Ow'ettima ayiiridde abantu 4 abaffamire emu asidi n'abulawo!

Abantu bana baweereddwa ebitanda nga bataawa, omuntu atannamanyika bw'abalumbye awaka, n'abayiira asidi

Ow'ettima ayiiridde abantu 4 abaffamire emu asidi n'abulawo!
By: Godfrey Kigobero, Journalist @New Vision

Abantu bana baweereddwa ebitanda nga bataawa, omuntu atannamanyika bw'abalumbye awaka, n'abayiira asidi

Bibadde ku kyalo Kasimbi - Busimbi cell mu Busimbi diviizoni e Mityana, omuzigu bw'alumbye amaka ga Francis Lutwama n'ayiira abaawaka bana asidi.

Bibaddewo kiro ng'amasannyalaze gagenze, omuzigu abadde yeekapise ekijaketi, bw'abayiridde asidi n'abulawo.

Asoose kubuuza baana b’asanze awaka maama waabwe w'abadde ne bamutwala mu ddiiro, amangu ago nti n'amuyiira asidi atwaliddemu n'abaana.

Abalumiziddwa wakati mu kwazirana n'okukuba enduulu ezisombodde baliriraanwa, kuliko Prossy Nankumba 43, Teddy Namugga 17, Robinah Nalukenge 10 ne Jeremiah Ssekaggo 6.

Omwogezi wa poliisi mu Wamala, Lameck Kigozi , agambye nti ekintu ekibaddemu asidi, kizuuliddwa ne jaketi gy'abaddemu era nga bakyabyetegereza ng'okunoonyereza bwe kugenda mu maaso.

Tags: