Amawulire

Omupakasi asazeeko mukama we obulago n’amutta lwa butamusasula ssente z’akolera

Ettemu, libadde ku kyalo Kyomya B  mu ggombolola y'e Kyomya mu disitulikiti y'e Kiboga, omusajja  ow'eggwanga lya Burundi Fabulisi bw'alumbye mukama we, Akaim Ggooloba 22, mu nnimiro gy'abadde ali mu kutegeka emiti okwokya amanda, n'atandika okuwogganira waggulu ng'abanja ssente.

Omupakasi asazeeko mukama we obulago n’amutta lwa butamusasula ssente z’akolera
By: Godfrey Kigobero, Journalist @New Vision

OMUPAKISI avudde mu mbeera n'asala mukama we obulago n'amutta, n'akwata mukyala we n'amukunguzza okutuuka ku LC1 ng'abakanda ssente z'abadde akolera.

Ettemu, libadde ku kyalo Kyomya B  mu ggombolola y'e Kyomya mu disitulikiti y'e Kiboga, omusajja  ow'eggwanga lya Burundi Fabulisi bw'alumbye mukama we, Akaim Ggooloba 22, mu nnimiro gy'abadde ali mu kutegeka emiti okwokya amanda, n'atandika okuwogganira waggulu ng'abanja ssente.

Oluvannyuma amubase n'amusala obulago n'agwa wansi n'afa, n'abaka mukyala we Gloria Nagawa  n'amuwalaawala okutuuka ewa ssentebe wa LC1 owa Kyomya B , Sulaiman Muwonge, nga naye amukanda ssente.

Ssentebe akubidde poliisi e Bukomero essimu, n'ekwata Fabuliisi ne bamuggalira n'omulambo gwa Ggolooba ne gutwalibwa mu ggwanika ng'okunoonyereza bwe kukolebwa.

Omwogezi wa poliisi mu Wamala, Lameck Kigozi, asabye abantu okubeera abeegendereza ennyo, nga bafuna abakozi.

Tags:
Ssente
Mupakasi
Kutta
Bulago
Musajja
Kusala