OMUPAKISI avudde mu mbeera n'asala mukama we obulago n'amutta, n'akwata mukyala we n'amukunguzza okutuuka ku LC1 ng'abakanda ssente z'abadde akolera.
Oluvannyuma amubase n'amusala obulago n'agwa wansi n'afa, n'abaka mukyala we Gloria Nagawa n'amuwalaawala okutuuka ewa ssentebe wa LC1 owa Kyomya B , Sulaiman Muwonge, nga naye amukanda ssente.
Ssentebe akubidde poliisi e Bukomero essimu, n'ekwata Fabuliisi ne bamuggalira n'omulambo gwa Ggolooba ne gutwalibwa mu ggwanika ng'okunoonyereza bwe kukolebwa.
Omwogezi wa poliisi mu Wamala, Lameck Kigozi, asabye abantu okubeera abeegendereza ennyo, nga bafuna abakozi.