Amawulire

Poliisi efunzizza abazigu ababadde baagala okunyaga essundiro ly'amafuta n'ekwatako omu!

POLIISI erinnye eggere mu lukwe abazigu b’emmundu lwe babadde baluse okunyagulula essundiro ly’amafuta n’ekwatako omu, ssaako okuzuula emmundu gye babadde nayo.

Poliisi efunzizza abazigu ababadde baagala okunyaga essundiro ly'amafuta n'ekwatako omu!
By: Eria Luyimbazi, Journalist @New Vision

POLIISI erinnye eggere mu lukwe abazigu b’emmundu lwe babadde baluse okunyagulula essundiro ly’amafuta n’ekwatako omu, ssaako okuzuula emmundu gye babadde nayo.

Ppiki kwe baabadde batambulira ekwatiddwa.

Ppiki kwe baabadde batambulira ekwatiddwa.

 Bino Byabaddewo mu kiro ekyakeesezza ku Mmande abazigu babiri bwe baaluse olukwe olukwe okunyagulula essundiro ly’amafuta erya Gaz mu kibuga Masindi wabula omukuumi ng’ayambibwako abantu ba bulijjo ne bakwatako omu ne bamukwasa poliisi.

Agambibwa okwagala okunyaga amafuta eyakubiddwa ng'ali mu ddwaaliro e Masindi

Agambibwa okwagala okunyaga amafuta eyakubiddwa ng'ali mu ddwaaliro e Masindi

Omwogezi wa poliisi mu ggwanga, Kituuma Rusoke yagambye nti abazigu babiri baagenze ku ssundiro ly’amafuta nga batambulira ku pikipiki nnamba UGG 529 B ng’emmundu yaabwe bagikwese mu kikooti ne bagezaako okubuzaabuza omukuumi nga bamusaba abakwatireko wabula n’abatebuka.

Mmundu gye baabasuuzizza

Mmundu gye baabasuuzizza

Yagambye nti omukuumi yeenyodde n’abazigu bano ekyavuddeko abantu abaabadde okumpi okusembera ne bakwatao omu eyategeerekeseeko nga Ronald Odoma ne bamukwasa poliisi ate ne bazuula n’emmundu gye baabadde bagenze nayo wamu ne ppikipiki wabula omulala n’adduka.

Yayongeddeko nti omukuumi yayolesezza obuvumu bwe yalwanaganye n’abazigu bano abaabadde bagezaako okumubuzaabuza kuba kano ke kakoddyo abazigu ke batera okukozesa nga babawuddiisa oluvanyuma ne babakuba oba okubawa ebyokulya ebirimu kalifoomu ne babba.

Yagambye nti mu kanyoolagano kano,  abadduukirize bakubye omu ku bo n’atwalibwa mu ddwaliro e Masindi gy’akuumirwa ku mpingu nga poliisi bw’enoonya omulala naye avunaanibwe.

Tags:
Ddiiru
Poliisi
Mafuta
Masindi
Gaz