OMUSAJJA abadde alwanira pikipiki ye abaserikale gye babadde batwala, bamukubye amasasi agamusse ng'agezaako okubalumba.
Omwogezi wa poliisi mu ggwanga Kituuma Rusoke, agambye nti , oluvannyuma abataayirizza mu kabuga akamu mu kitundu ekyo, n'agezaako okubalumba n'ejjambiya ne bamukuba amasasi.
Agasseeko nti bakutte abaserikale ba poliisi ababadde mu kumukwata , bannyonnyole lwaki bamukubye .
Rusoke asabye abantu okwewala okulwanagana n'abaserikale nti kuba oluusi kivaamu okuyiwa omusaayi n'ebikolwa eby’okutta.