Poliisi eyongedde okulabula abatuuze abataamatira na kulonda okwaliwo mu byalo okwa LC1, okwewala ebikolwa eby’efujjo nti naye ensonga baziyise mu maateka.
Omwogezi wa poliisi mu ggwanga, Kituuma Rusoke, abawadde amagezi okuyita mu mitendera emituufu, basobole okufuna obwenkanya so si kwenyigira mu bikolwa bimenya mateeka kuba baakukwatibwa.
Ayongedde okukikakasa nga bwe bataddewo obukuumi mu kulonda okugenda mu maaso okulaba ng'abatuuze balonda mu mirembe.