gye baddiza ewaabwe mu luwummula.
Bano bagamba nti, abayizi nga 14 aba S4 essomero lyabawandiikidde amabaluwa agabagoba ne babasindiikiriza okuva mu ssomero ng’entabwe eva mu kwenyigira mu kabaga ke baakolera mu maka g’omu ku bazadde mu luwummula.
Okusinziira ku bbaluwa egoba abayizi bano eyawandiikibwa nga Agust 3, 2026 era eriko n'omukono gw’omukulu w’essomero, Teopista Nakalembe, abayizi bavunaanibwa
okweyisa mu ngeri ey’ekigwenyufu nga bakozesa ebiragalalagala,
okusaasaanya obutambi obw’obuseegu n’okutegeka obubaga nga byonna bimenya mateeka ga ssomero.
“Okusinziira ku kunoonyereza ku nneeyisa yammwe mu lumummula, kikakasiddwa nti, mweyisa mu nneeyisa evumaganya ekifaananyi ky’essomero n’ennono zaalyo.
Noolwekyo, muweereddwa ekibonerezo kya kugobebwa ku ssomero mbagirawo nga kya kumala ekiseera ekitali kigere. Wabula mujja kukkirizibwa okujja okukola ebigezo
byammwe ebya UNEB wakati mu bukwakkulizo obw’enjawulo,” ebbaluwa bw’esoma.
Obumu ku bukwakkulizo bugamba nti; baakuva waka nga bakola UNEB nga buli omu awerekerwako omuserikale mu buli lupapula lwe banaakola. Baakutuukanga mu
ssomero ng’ebula eddakiika 15 ekigezo kitandike wakati mu kukuumibwa.
Era balina okusooka okusasula ebisale byonna ebibabanjibwa balyoke bakkirizibwe okukola ebigezo nga kw’otadde n’ensimbi 1,290,000/- ez’abayizi abava awaka nga za lusoma lwa ttaamu eyookusatu.
“Ssinga oli anaalemererwa okuteeka mu nkola obukwakkulizo buno, kikyayinza okumuviiramu okummibwa ebibuuzo,” ebbaluwa bw’esoma.
ABAZADDE BABIWAKANYIZZA
Wabula abazadde bawakanyizza eky’abaana baabwe okugobebwa n’obukwakkulizo obwabateekeddwaako nga bagamba nti, tebuliimu buntubulamu.
Abazadde bagamba nti, abayizi emisango baagizza bali waka mu mikono gy’abazadde nga beewuunya ate essomero okubawa ebibonerezo nga tebasoose na kubawuliriza.
“Abayizi bwe baba ng’emisango baagiddiza waka nga tebali na
mu yunifoomu, okugamba nti, baavumaganya erinnya n’ennono z’essomero kiba kikyamu,” omu ku bazadde bwe yagambye.
Era bawakanya n’eky'okusasula ebisale by’essomero ebya ttaamu abayizi gye batagenda kubeera ku ssomero nga bagamba nti, kino nakyo si kituufu. Ku kya buli muyizi buli lunaku lw’anaakolanga ebibuuzo okugendanga ku ssomero n’omuserikale, abazadde bagamba nti, kikyamu kuba bano si bazzi ba misango okuleka essomero okwagala okukosa obwongo bw’abaana baabwe ate mu kadde akazibu nga ak'okweteekerateekera ebibuuzo eby’akamalirizo ne mu kiseera we banaabikolera.
Abazadde era bagamba nti, abamu ku bayizi abaagobeddwa tebaaliko mu bubaga
obwogerwako okuleka okuba nti, mikwano gy’abamu ku baaliyo.
“Abasomesa ne bannannyini ssomero tusaba beeyise ng’abazadde. Kikyamu
okuteeka abayizi mu maaso ga bannaabwe abali eyo mu 2,000 ne baboogerera
ebigambo ebitali na bituufu.
Baagamba nti, baazina ebimansulo naye nga si kituufu ate nga kikosa obwongo
bw'abaana,” omu ku bazadde bwe yagambye.
Abazadde ku Lwokutaano, baagumba ku ssomero okuva ku ssaawa nga 5:00 okutuusa ku 8:30 essomero lwe lyabakkiriza okuyingira ne babawuliriza omu kw’omu.
Abazadde bagamba nti, baabalagira okuwandiika ebbaluwa nga basaba essomero libasalire ku kibonerezo abamu ku bo ne kino ne bakiwakanya nga bagamba nti, abaana baabwe tebazzanga ku misango gino.
Bwe twagenze ku ssomero lyogere ku nsonga eno, omumyuka lyogere ku nsonga eno, omumyuka w’omukulu w’essomero, Alfred Kalamya yalagidde omusasi waffe
afulume essomero alinde okusalawo okunaava mu bboodi y'essomero