MINISTA avunaanyizibwa ku nsonga z'amawanga g'Obuvanjuba bwa Afrika ate era nga ye mubaka omukyala owa disitulikiti y'e Kamuli, Rebecca Alitwala Kadaga ategeezezza nti e Busoga baatandise ku nteekateeka ey'okufumbiranga abayizi mu masomero ga bonna basome aga Pulayimale obuugi bwa 'soya' n'ekigendererwa eky'okulaba nti abayizi tebasiiba njala so nga ate era balya ebyo ebirimu ekiriisa .

Minisita Rebecca Kadaga n'omukungu wa Gain - Uganda, Damali Ssali

Okwogera bino Kadaga abadde aggulawo omusomo gw'ababaka ba Palamenti ogukwatagana ku by'endiisa ogwategekeddwa ekibiina ky'obwannakyewa ekivunaanyizibwa ku by'endiisa ekya 'Gain - Uganda' nga omukolo guno gwayindidde mu Kampala.
Yasabye ababaka ba palamenti nti ebbago ly'etteeka ku mmere n'endiisa bweriddamu okuleetebwa ku lutuula lwa Palamenti baliwagire lisobole okuyisibwa okufuuka etteeka.


Akiikirira ekibiina kya Gain mu Uganda, Damali Ssali yagambye nti olw'endya embi omuwendo gw'abaana abali wansi w'emyaka 5 abakonzibye gukyali waggulu, nga okunoonyereza okwakasembayo kwalaga nti bali ku bitundu 26%, so nga ate n'abaana abafaafaagana n'omugejjo nagwo omuwendo gweyongedde.
Wano weyasinzidde n'alaga obwetaavu bwa Palamenti eno ey'omulundi ogwa 12 okwanguyiriza mu kuyisa amateeka aganaalambika bannansi ku by'endya naddala okulya emmere erimu ebiriisa era ey'omugaso mu mubiri.
Omusomo guno ogw'ababaka ba Palamenti ku byendya gwakumala ebbanga lya nnaku 3 nga guyindira mu Kampala era nga okusinga gwetabiddwaamu abo ababaka abatuula ku kakiiko k'eby'emmere.