Amawulire

Bannayuganda basabiddwa okwekolako obujjanjabi obusookerwako nga tebannagenda mu malwaliro

Dr. Roselline agambye nti ebiseera ebisinga omuntu asobola okugenda mu ddwaliro nga akaaba mutwe naye nga obuzibu buvudde ku butanwya mazzi gamala.

Bannayuganda basabiddwa okwekolako obujjanjabi obusookerwako nga tebannagenda mu malwaliro
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

Bannayuganda basabiddwa okufaayo okwekolako obujjanjabi obusookerwako (Self Care) nga tebannagenda mu malwaliro okusaasaanyazaayo ssente so ng'ebintu ebimu basobola okubyejjanjabisa byogéddwa Dr Roselline Achola Senior Technical Advisor for Sexual and reproductive Health mu Ministry of Health bw'abadde omugennyi omukulu ku mukolo gwa Ahaki Afya Na Haki Institute ku kyalo Ndazabazadde-Nakwero mu Kasangati Town Council Wakiso bwe baabadde baaniriza abayizi abapya wamu n'okubabuulirira nga babayisaamu mw'ebyo bye bagenda okúsoma.

 

Dr. Roselline agambye nti ebiseera ebisinga omuntu asobola okugenda mu ddwaliro nga akaaba mutwe naye nga obuzibu buvudde ku butanwya mazzi gamala.

 

Ono era avumiridde abantu abalina endowooza egamba nti tebanywa mazzi, wabula bo banywa juice yekka ate abamu obasanga beewaana nti, "Nze nnywa ccupa ya bbiya ennyogoga y'emmalako ennyonta" n'agamba nti endowooza eyo nkyamu era omuntu alina okwekolako obujjanjabi obusookerwako ng'anywa amazzi buli lunaku.

 

Abayizi, Abasomesa Ne Dr Roselline Achola (ayambadde Ebyeru) Mukifanannyi (2)

Abayizi, Abasomesa Ne Dr Roselline Achola (ayambadde Ebyeru) Mukifanannyi (2)

Prof. Ben Twinomugisha, omusomesa w’eby'amateeka, waasinzidde n'ategeeza nti abaana banafuye mu bwongo olwa tekinologiya wa ‘AI’, era alabudde abayizi nti gwe banaakwata nga akozesa 'AI' okuddamu ebibuuzo, bajja kumusuula ebigezo kubanga baagala abaana abayiiya baleme okwesigama kw'ebyo ebiyiyiziddwa abantu abalala.

 

Dr. Alimah Komuhangi, Dean of Students ku Ahaki Atya na Haki Institute yategeezezza nti baakamala omwaka mulamba nga babangula abayizi mu mateeka n'eby’obulamu naye basanyufu kubanga batandise okulaba ku bibala nga kati waliwo abayizi nga Mubanda Muzafalu gwe batandika naye kati eyawandiisi ekitabo kya ‘Self Care Toolkit For Reproductive Justice Actors in Africa".  

 

Muzafalu Nga Ayogera Ku Kitabo Kye yawandiise

Muzafalu Nga Ayogera Ku Kitabo Kye yawandiise

Ekitabo kino Dr Roselline Achola Senior Technical Advisor for Sexual and Reproductive Health mu Ministry of Health akitongoza n'ategeeza nti bagenda kukiteeka ku mutimbagano kisobole okuyanbako abasawo mu kumannya ebintu ebyenjawulo.

 

Ono ategeezezza nti Ahaki Atya na Haki Institute esomesa abayizi naddala abasawo okuyigga ebintu mu nnimi zaabwe ennansi wabula si kwesiba ku Luzungu lwokka nga ate abantu be bajjanjaba babannyonnyola mu lulimi lunnansi naddala wano mu nsi za Africa .

Tags: