Amawulire

Latif Ssebaggala alidde n’asuubiza ku kya Pulezidenti mu 2031

EYALI Omubaka wa Palamenti owa Kawempe North okumala ebisanja bina (4), Latif Sebaggala Sengendo Gavumenti oluwadde mukazi we omulimu n’acamuka kati tayagala kuwulira ayogera kibi ku Pulezidenti Museveni ne Gavumenti ya NRM.

Ssebaggala (ku ddyo) ng’ali ne mukyala we, Dr. Naamala ku mukolo ogumu.
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

EYALI Omubaka wa Palamenti owa Kawempe North okumala ebisanja bina (4), Latif Sebaggala Sengendo Gavumenti oluwadde mukazi we omulimu n’acamuka kati tayagala kuwulira ayogera kibi ku Pulezidenti Museveni ne Gavumenti ya NRM.
Mukyala we Dr. Hanifah Naamala Ssengendo yakoonodde ogufo mu Gavumenti bwe yalondeddwa nga mmemba ku kakiiko akagaba emirimu gya Gavumenti aka Public Service Commission (PSC).

Dr. Naamala, yalondeddwa n'abalala okuli: Vincent Seruma (ssentebe) Jane Sanyu Mpagi (mumyuka) Dr. Anthony Taabu Munyaho, Ms. Florence Mugonya Malinga, Dr. Opio Alex Achol, Kenneth Namboga Madete, Patrick Ngolobe ne Mauda Norah Mugisha.
Amannya gaawerezeddwa mu Palamenti era Sipiika Jacob Oboth n'atuuza akakiiko ku Mmande ne bagasunsula nga kati balinze kugenda mu State House kulayizibwa. Buli mmemba w'akakiiko asasulwa omusaala gwa bukadde 21 buli mwezi bw’agattako ensako n'ebigenderako ebirala, ayingira obukadde nga 35 buli mwezi.
SSEBAGGALA AKAMIRWA BINA
Mu kwogerako ne Bukedde, Ssebaggala yagambye nti byonna by’azze akola oluvannyuma lw’okulonda, bituufu era abikolera mu mwoyo gw’okuzimba Uganda eya wamu nga buli omu agibeeramu mu mirembe.
Yakakasizza ebigambo bye eby’okuwagira Pulezidenti Museveni singa aneesimbawo mu 2031 wadde nga kati tanneesogga kibiina kya NRM.
“Ssebo nkyali munnabyabufuzi atalina kibiina nga mpagira Pulezidenti Museveni addemu okwesimbawo mu 2031 oba yenna gw’anaasongako,” Hajji Ssebaggala bwe yayanukudde oluvannyuma lw’okubuuzibwa ku bigambibwa nti yayingidde NRM.
Ku kya mukyala we okuweebwa ekifo mu Gavumenti, ekyakwataganye n’ebigambo ebisuusuuta Gavumenti, yagambye nti omukyala oyo naye Munnayuganda nga abalala abafuna emirimu mu Gavumenti eya wakati.
OMUKUGU KY'AGAMBA KU SSEBAGGALA OKUKYUKAKYUKA
Omutunuulizi w’ebyobufuzi, Yusuf Sserunkuuma yagambye nti okuwakanya Gavumenti ya Uganda mu kiseera kino kikalubo era bangi ku bannabyabufuzi ensangi zino bazitoowereddwa.
“Okuwakanya Gavumenti etegenda, kukooya mutwe ate bw’osangibwa ng’okyalimu ku maanyi agoogera, ogyegattako bwegassi. Ssebaggala akyali muto, alina ebiruubirirwa biwanvu nooolwekyo by’akola sibyewuunya,” Sserunkuma bwe yayogedde.
Okuwagira Museveni, Latif Ssebaggala akoledde ddala nga mukulu we, Hajji Nasser Ntege Ssebaggala naye eyamwegattako mu biseera bye ebisembayo mu byobufuzi. Ng’agenda okusisinkana Museveni ng'akalulu kawedde mu January 2026, yabadde ne muto we, Farouk Ntege, ekiraga nti famire eno eyali eng’undiivu ku ludda oluvuganya emiriddwa Pulezidenti Museveni.

Tags: