Amawulire

Baddereeva balaajana lwa kubasasuza ssente okuyita ku Shoprite

BADDEREEVA ba ttakisi n’abantu abalala abakolera ku nguudo eziriraanye Ben Kiwanuka Street balaajana olw’abantu ababasolooza ssente ezitategeerekeka buli lwe bayita ku kizimbe kya Shoprite.

Emmotoka eziyita ku kizimbe kya Shoprite nga bazisolooza
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

BADDEREEVA ba ttakisi n’abantu abalala abakolera ku nguudo eziriraanye Ben Kiwanuka Street balaajana olw’abantu ababasolooza ssente ezitategeerekeka buli lwe bayita ku kizimbe kya Shoprite.
Bukedde alondodde engeri embeera gy’etambula mu kifo kino n’esanga nga abattakisi balaajana olw’okubasasuzanga ssente eziri wakati wa 1,000/- ne 2,000/- okusobola

okuyita mu kkubo eriyita ku Shoprite, era ssente ezo bazisasula buli lwe bayitawo.
Embeera eno bagissa ku bakola amakubo abaluddewo okugamaliriza, ekibawaliriza okukozesa amakubo amalala omuli eriyita ku Shoprite, kubanga tebakyasobola kutuuka ku ppaaka enkadde nga bakozesa oluguudo lwa Ben Kiwanuka olukolebwa.
Ssentebe wa LC1 mu kitundu kino, ekimanyiddwa nga UTC Village, Badru Kirumaganyi, agamba nti n’abasuubuzi bakoseddwa olw’embeera eno, kubanga
bizinensi zaabwe tezikyatambula bulungi, ekibakaluubiriza n’okusasula ssente z’obupangisa, kubanga tebakyafuna bakasitoma. Baagambye nti beeraliikirivu kubanga sizoni ya Ssekukkulu etuuse we bafunira abasuubuzi naddala okuva ebweru w’ekibuga nga tebamanyi bwe bagenda kutambuzaamu mirimu ng’oluguudo lukyali mu mbeera eno.
Abaddukanya Paaka enkadde baasaba KCCA okubateerawo ekkubo eddala mmotoka we zisobola okuyita nga tebasasudde naye kikyagaanye. Omuwandiisi ku kakiiko akaddukanya ppaaka enkadde, Abbas Mutebi yagambye nti, embeera eno ekaka abavuzi okukozesa amakubo amalala mu bukyamu omuli eriyita ku Shoprite, gye bagamba nti basanga abantu ababasoloozaamu bssente mu bumenyi bw’amateeka.
KCCA ETANGAAZIZZA
Omwogezi wa KCCA, Daniel Nuwe Abiine bwe yatuukiriddwa yalaze nga bwe batalina kakwate ku basolooza ssente ku battakisi n’asaba baddereeva okugoberera amateeka agali mu kifo ekyo n’okugoberera okulambikibwa okukolebwa abakola oluguudo luno baleme okuyita mu makubo agatali malambulukufu gye babasolooleza ssente ezitali mu mateeka.
Muhumuza agamba nti ekiseera eky’okumaliriza oluguudo kyongezeddwaayo ennaku 60, ekitegeeza nti lusuubirwa okuggwa mu December. Yagambye nti oluguudo luno obutaggwa mangu kyava ku mikutu gy’amazzi n’emyala egirina okusooka
okutereezebwa, nga bakozesa ebigoma eby’amaanyi n’agattako nti KCCA erina enteekateeka okukola oluguudo luno okulutuusa ku Equatorial Hotel.

Tags: