Amawulire

KCCA erabudde abasuula kasasiro mu myala n’emifulejje ng’enkuba etonnye

EKITONGOLE kya KCCA kirabudde abantu obuteetuumako kasasiro ne balindaenkuba etonnye bamusuule mu mifulejje mukoka amutwale n’agamba nti, abanaakola kino baakukangavvulwa.

Abakozi ba KCCA nga basika ettundubaali okuli kasasiro gwe baakung’aanyizza bwe baabadde mu ‘Weeyonje’ mu Butukirwa zooni e Bukoto ku Lwomukaaga.
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

EKITONGOLE kya KCCA kirabudde abantu obuteetuumako kasasiro ne balinda
enkuba etonnye bamusuule mu mifulejje mukoka amutwale n’agamba nti, abanaakola kino baakukangavvulwa.

Akulira ebyobulamu mu KCCA, Dr. Sarah Zalwango yagambye nti, waliwo abantu abataagala kusasula ssente za kasasiro ne bamukweka ne balinda enkuba etonnye bamusuule mu mifulejje mukoka amutwale. “Twagala okulabula bonna abataagala kusasulira kasasiro ne basalawo okulinda enkuba etonnye bamusuule mu mifulejje mukoka amutwe nti bubakeeredde kuba anaakwatibwa waakuvunaanibwa kuba kasasiro gwe basuulamu azibikira emyala, ekireetawo amataba, Dr. Zalwango bwe yalabudde.
N’awa abalina kasasiro amagezi bamukuume ate nga bamwawudde, kkampuni ezaapatanibwa KCCA zisobole okumutwala.
Yagambye nti, abasinga okusuula kasasiro mu mifulejje b’ebo abamukweka nga bagamba nti tebalina ssente ng’ate KCCA yagereka ebisale amaka bye galina okusasula
nga mu bifo eby’enzigotta, akadeeya aka kkiro 50 ka 1,000/- omwezi ate awalala ka
3,000/-.
Yategeezezza nti, KCCA ekibuga yakikutulamu zooni 9, buli emu n’egikwasa kkampuni erina okuyoolayo kasasiro. Nti kino kyagendererwamu okulaba nti kasasiro tasigala mu bantu kyokka waliwo abakyagaanyi okuwaayo kasasiro atwalibwe ng’anaakwatibwa
waakumusasulira. Yagambye nti, mu kiseera kino eky’enkuba KCCA yayungudde ttiimu egogola emyala mu Kampala, amazzi gasobole okutambula. N’agamba nti, waliwo ab’ebikomera abataagala kuwaayo kasasiro, abatasaawa mpya zaabwe n’obutalima wabweru w’ebikomera ne munda ekisiba ebintu nga emisota n’emmese mu bitundu.

Tags: