Abantu abalala 14 bakwatiddwa mu kikwekweto ky'okuyigga abaakuba kaputeeni wa Sports Club Villa David Owor ppeeva, n'afiira mu Case Clinic, wiiki ewedde.

Ezimu ku ngatto ezigambibwa okuba eza Owor ze baamusanze nazo.
Ku baakwatiddwa kuliko basatu abagambibwa okugula essimu enzibe, bataano abagambibwa okwenyigira mu kutemula omugenzi, ate abalala 9 bagambibwa okukolagana ne bano, mu kibinja ekibba, okutulugunya n'okutemula abantu.
Mu kubakunya , kigambibwa nti omu ku bo akkiriza nga bwe bazze bakola ennumba ez'enjawulo ku bantu n'okubabba nga bakozesa bbulooka ne ppeeva.
Kitegeezeddwa nti ku olwo, nga bali mu kibinja ( eggaali), baatigomya abasuubuzi n'abatuuze b'e Nsambya Nabisaalu, Kirombe ne Makindye era ekiro ekyo nti lwe baakuba Owor ne bamubbako essimu.
Omwogezi wa poliisi mu Kampala, Racheal Kawala, agambye nti mu kwaza abaakwate gye basula e Ggangu ne Kasubi, baazudde ebizibiti ebiwerako, pikipiki emu, akakepe ka ttiyaggaasi, engatto eziriko omusaayi era ng'okunoonyereza kugenda mu maaso.