Amawulire

Yunivaasite zirabuddwa ku tekinologiya wa AI!

EKIBIINA ekigatta abakola ku mutindo gw’ebyenjigiriza mu yunivAasite zona mu Uganda ekya Uganda Universities Quality Assurance Forum (UUQAF), kirabubudde zi yunivaasite, abasomesa n’abayizi okukozesa tekinologiya wa Artificial Intelligence (AI), naye nga bakuuma omutindo gw’ebyenjigiriza n’emirimu gy’amasomo.

Yunivaasite zirabuddwa ku tekinologiya wa AI!
By: Nickson Turyahikayo, Journalist @New Vision

EKIBIINA ekigatta abakola ku mutindo gw’ebyenjigiriza mu yunivAasite zona mu Uganda ekya Uganda Universities Quality Assurance Forum (UUQAF), kirabubudde zi yunivaasite, abasomesa n’abayizi okukozesa tekinologiya wa Artificial Intelligence (AI), naye nga bakuuma omutindo gw’ebyenjigiriza n’emirimu gy’amasomo.

Abakulembeze b'ekitongole kino mu kifaananyi eky'awamu.

Abakulembeze b'ekitongole kino mu kifaananyi eky'awamu.

Bano baabadde mu lukung’aana ku Kampala University wiiki ewedde ku Lwokutaano mu nteekateeka y’okukyalira yunivaasite ez’enjawulo buli mwaka.

Polof. Mary Maurice Mukokoma, akulira UUQAF era ekitongole ekivunaanyizibwa ku mutindo gw’ebyenjigiriza e Kyambogo University, yagambye nti ekibiina kyakugenda mu maaso n’okulondoola n’okutumbula omutindo gw’ebyenjigiriza mu yunivaasite zonna mu Uganda.

“Ne bwe kiba nti yunivasite eri mu kaweefube w’okufuna ensimbi, omutindo gw’ebyenjigiriza tegulina kussibwa ku bbali,” Mukokoma bwe yagambye.

Polof Mukokoma ng'ayogera.

Polof Mukokoma ng'ayogera.

Ate polof. Michael Mawa okuva mu Inter-University Council for East Africa, yagambye nti abakulembeze ba yunivaasite n’abakwatibwako mu byenjigiriza balina okwongera okunyweza enkola z’okulondoola omutindo, naddala mu kiseera kino nga AI eyingidde ebyenjigiriza.

Mawa yagambye nti yunivaasite zirina okukakasa nti AI ekozesebwa mu ngeri ey’obuvunaanyizibwa era etayonoona mutindo gw’amasomo.

Ate akulira National Council for Higher Education (NCHE), Dr Vincent Ssenbatya, yalabudde nti AI erina okukozesebwa mu ngeri ey’obuvunaanyizibwa era nga egoberera amateeka n’omutindo oguteekeddwawo mu byenjigiriza eby’awaggulu.

Julius Ssekatawa owa Kampala University yakubirizza abasomesa n’abayizi okukozesa AI, ng’alabula nti abatayagala kukyuka na tekinologiya aliwo  bayinza okusigala emabega mu byenjigiriza ne mu katale k’emirimu.

Tags:
AI
University
Yunivaasite
Kusoma