ABAVUBUKA mu ggwanga bajaguzza olunaku lwabwe n'omulamwa gwa "Abavubuka n'eby'obugagga eby'omuttaka" nga guno mu lufuutifuuti lumanyiddwa nga " Youth Mining Day " .
Olunaku luno lwategekeddwa ekitongole kya Junior Uganda Chamber of Energy and Minerals nga lwayindidde ku Yunivasite ya Busitema. Omukolo gwetabiddawako bannabyanjigiriza , bannabyabufuzi, abakugu mu by'amasannyalaze n'eby'obugagga eby'omuttaka wamu n'abavubuka abaasobye mu 200.


Minista omubeezi ow'amasannyalaze n'eby'obugagga eby'omuttaka, Phiona Nyamutoro eyabadde omugenyi omukulu ku mukolo guno , yategeezezza nti gavumenti nneetegefu okubaga amateeka agagenda okuwa abavubuka omwagaanya okuddukanya eby'obugagga bino kuba nga bikwattiddwa bulungi bisobolera ddala okusitula enkulaakulana y'eggwanga.



Polof. Paul Waako mu ssuuti ya bbulu, akulira Busitema University
Akulira ekitongole kya Uganda Chamber of Energy, Humphrey Asiimye yagambye nti Uganda erina eby'obugagga eby'omuttaka bingi naye ate tebifiiriddwaako kimala kye baava basalawo okusembeza abavubuka bagatte obwongo era bakubaganyize wamu ebirowoozo ku ngeri eggwanga gye liyinza okutumbulamu eby'obugagga bino okubifunamu wano n'okweyambisa tekinologiya ali ku mulembe okubiyiikuula mu ttaka mu ngeri etali yaakwonoona butonde bwansi.
Omukwanaganya w'emirimu mu kitongole kya UNDP , Hope Kyarisiima, yakakasizza nti baakugenda mu maaso n'okuwa Uganda obuyambi okulaba nti enteekateeka zonna ezeekuusa ku kuyiikuula eby'obugagga eby'omuttaka zitambuzibwa mu ngeri entuufu .



Uganda erimu eby'obugagga eby'omuttaka ebiwerera ddala okuli; zaabu, cobalt, lithium, graphite n'ebirala bingi nga wano akulira yunivasita ya Busitema, Paul Waako we yaweeredde bannansi essuubi nti bongedde okuteekawo emisomo eginoonyereza ku by'obugagga bino nga kwotadde n'okutendeka abayizi era gye buggya eggwanga lyakwongera okubifunamu .