Amawulire

Ab'e Nansana balaajanidde minisita Balaam okubataasa ku ssentebe gwe 'bataalonda'

Abatuuze ba Nansana East 1B e Kabumbi bavudde mu mbeera ne bagumba ku ofiisi ya ssentebe w’ekyalo kino wakati mu kulaga obutali bumativu ku byava mu kalulu k’obwassente nga bagamba nti eyawangula si ye yalangirirwa wabula eyali akutte eky’okusatu.

Ab'e Nansana balaajanidde minisita Balaam okubataasa ku ssentebe gwe 'bataalonda'
By: Kiragga Steven, Journalist @New Vision

Abatuuze ba Nansana East 1B e Kabumbi bavudde mu mbeera ne bagumba ku ofiisi ya ssentebe w’ekyalo kino wakati mu kulaga obutali bumativu ku byava mu kalulu k’obwassente nga bagamba nti eyawangula si ye yalangirirwa wabula eyali akutte eky’okusatu.

Bano okubadde Abdul Kasanvu ne Nanjwenge Yakubu bakoowodde minisita Balaam ayingire mu nsonga z’e Nansana kuba ebyalangirirwa bisiiga ekifaananyi ekibi eri abaana abalaba abazadde nga balonda.

Ye ssentebe w’ekyalo kino Haruna Katende akukkulumidde abeebyokulonda olw’okudibaga okulonda ne balangirira abantu gwe bataalonda ku mudumu gw’emmundu n’annyonnyola bye yaysibwamu omuli okukubibwa nga bamutadde mu drone n’afuna obukosefu n’okutuusa kati.

Ate Ismail Kambugu omu ku baali beesimbyewo agamba nti Katende ye yawangula, bw’atyo n’asaba ensonga eno etereezebwe okwewala ebikolwa by’obumenyi bwa mateeka ebiyinza okuddirira olwo obusungu bwa batuuze eri ssentebe bwe balangirira.

Tags:
Nansana
Kabumbi
Kulonda
Ssentebe