ABASERIKALE b'eggye lya UPDF ab'ekibinja kya Mounten Infantry Division , batendekeddwa ku ddembe ly'obuntu n'okubudaabuda abakoseddwa entalo n'obusambattuko.

Abaserikale abaabadde mu kutendekebwa mu kifaananyi eky'awamu.
Gwetabiddwamu abaduumizi n'abaserikale ku mitendera egy'enjawulo. Babanguddwa ku ddembe ly'obuntu naddala mu bitundu ebirimu entalo n'obutabanguko.

Magara ng'ayogera.
Divisional Administration Officer Col. Grant Mugabi Magara ku lwa divisional Commander, agambye nti okutendekebwa kuno, kwakuyamba abaserikale okumanya engeri y'okudduukirira n'okuyamba abaataataaganyizibwa entalo n'okubabudaabuda.
Ye Rtd. Col. Mamadou Camara ku lwa 'ICRC Armed Forces and Security Delegate' agambye nti okutendekebwa kuno kwongedde okunyweza enkolagana wakati wa UPDF ne ICRC era n'agamba nti kyakuyamba okwongera okunyweza eddembe ly'obuntu n'obukugu mu nkola y'emirimu.