Amawulire

Ababadde basima oluzzi e Mityana bafudde kiziyiro nga bateekayo ppampu

Bibaddewo, abasajja babiri ababadde basima oluzzi ku kyalo Bifuma LC1 mu ggombolola y'e Kakindu , bwe babadde bassa ppampu wansi mu luzzi lwe babadde baakamala okusima, omukka ne gubabula ne bafunira ekiziyiro mu luzzi luno.

Ababadde basima oluzzi e Mityana bafudde kiziyiro nga bateekayo ppampu
By: Godfrey Kigobero, Journalist @New Vision

Abantu babiri ababadde basima oluzzi e Kakindu mu Mityana, bafudde ekiziyiro.

Bibaddewo, abasajja babiri ababadde basima oluzzi ku kyalo Bifuma LC1 mu ggombolola y'e Kakindu , bwe babadde bassa ppampu wansi mu luzzi lwe babadde baakamala okusima, omukka ne gubabula ne bafunira ekiziyiro mu luzzi luno.

Abafudde kuliko omu ategeerekese nga Rasta n'omulala Rogers Brown  era nga kigambibwa nti  bibadde mu maka ga Mohammed Bamulanzeeki .

Kitegeezeddwa nti Rasta, y’asoose okukka wansi okussaayo pump eyo , n'azirika, munne naye kwe kwagala okukkayo amutaase, bombi ne bafiiramu.

Kigambibwa ssentebe wa LC1 mu kitundu ekyo, James Ssemango, atemezza ku poliisi y'e Kakindu abagenze n'abazinyamooto ne baggyayo emirambo ne gitwalibwa mu ggwanika ly'eddwaliro e Mityana, okugyekebejja, ng'omwogezi wa poliisi mu Wamala, Lameck Kigozi, bw'annyonnyola.

Tags:
Amazzi
Kakindu
Mityana
Ppampu
Kiziyiro
Luzzi
Kusima