Amawulire

Omuzungu alumirizza Besigye ne banne okwagala okutta pulezidenti Museveni batwale obuyinza

OKUWULIRA obujulizi mu misango egivunananibwa Dr Kiiza Besigye,Hajji Obed Lutale ne Capt Oola kuzzeemu olwaalero .

Omuzungu alumirizza Besigye ne banne okwagala okutta pulezidenti Museveni batwale obuyinza
By: Margaret Zalwango, Journalist @New Vision

OKUWULIRA obujulizi mu misango egivunananibwa Dr Kiiza Besigye,Hajji Obed Lutale ne Capt Oola kuzzeemu olwaalero .

Hajji Obed Lutale mu kkooti gye buvuddeko.

Hajji Obed Lutale mu kkooti gye buvuddeko.

Omujulizi omuzungu munnansi wa America Andrew Wilson abuulidde kkooti nti Besigye ne banne baali bategese okutta pulezidenti Museveni olwa batwale obuyinza.

Agambye nti baali bategese okusaasaanya ssente z’ebicupuli mu ggwanga, bateeke obutwa mu mazzi, bakube ebikompola ku bifo ebyenkizo okuli ebitebe bya Uganda mu bungereza, ebifo ebyenkizo mu Uganda .

Agambye nti Besigye ne banne b’alina okuli Joel Wakayima baali bamaliridde okutta Museveni n’okutwala obuyinza era nti baali bakolagana n’abanene abamu abaali bajja okutwala ebyokwerinda mu maaso nga Besigye awambye.

Andrew Wilson yali waakusasulwa ng’aweebwa ddiiru ez’enjawulo omuli okuyingira ku bya bbanka, okuweebwa layisinsi za businensi ssaako okuweebwa pasipooti ne viza za Uganda.

Tags:
Amawulire
Muzungu
Kulumiriza
Kkooti
Bujulizi