Waliwo omukadde ow'emyaka 82 awanjagidde ofiisi y'omubaka wa Pulezidenti mu disitulikiti y’e Luweero ne bannamateeka okumutaasa ku mwana we gwe yeezaalira ayitibwa Kakooza Fred gw’alumiriza okumukijjanya ku kibanja bbaawe omugenzi Philip Mukyakaze kye yamulekera.

Nakate eyalaajanidde RDC
Ono agambye nti mu kaseera kano muzzukulu we y’amulabirira kyokka we yandibadde alina emmere ate yamugobyewo nga n’ekifo w’abadde alundira ente ze omuddo bagufuuyidde.
Wano we yasinzidde n’asaba RDC w’e Luwero okulaba ng’ayingira mu nsonga ze kuba kati asobeddwa eky'okukola.
Bo abatuuze ku kyalo kino nabo basabye be kikwato okuyamba omukadde ono kuba eky’amazima waliwo ebitatambula bulungi ku nsonga zino.
Wabula, baasobodde okufuna omusajja Kakooza Fred ku ssimu kyokka agambye nti omukadde yakkiriza ne bagabana kyokka mu kaseera kano ne yeefuula wakati nga muzzukulu we amulabirira era amuteekamu ebigambo.