Amawulire

Poliisi ekutte abasajja 3 ku by'okubba ente e Kasangati

ABASAJJA basatu abagambibwa okwenyigira mu kubba ente ssatu, bakwatiddwa poliisi y'e Kasangati .

Poliisi ekutte abasajja 3 ku by'okubba ente e Kasangati
By: Godfrey Kigobero, Journalist @New Vision

ABASAJJA basatu abagambibwa okwenyigira mu kubba ente ssatu, bakwatiddwa poliisi y'e Kasangati .

 

Abakwatiddwa, kuliko Joseph Ssemakula, Joseph Katabira n'omulala ategeerekese nga Kiwanuka, nga kigambibwa nti baasangiddwa n'ente ssatu nga bazitambuliza mu mmotoka nnamba UAH 843W okuva e Luweero.

 

Omwogezi wa poliisi mu Kampala, Racheal Kawala, agambye nti abakwate bakkiriza ng'ennamba entuufu ey'emmotoka bweri UAP 661 N  ng'eri endala ebadde njingirire.

 

Mu ngeri y'emu era poliisi e Katwe ekoze ekikwekweto, n'ezuula pikipiki egambibwa okuba enzibe, nnamba puleeti 12 ,  n'ebyuma bya pikipiki endala e Nnyanama Bunnamwaya.

 

Kawala agamba nti bayigga ali amabega w'obubbi buno nti kuba yadduse nga baakatuuka ewuwe.

Tags:
Bubbi
Ppikippiki
Poliisi
Kukwata
Kukwatibwa