Abantu 22 abagambibwa okuba mu kibinja ekirudde nga kinyaga abasuubuzi ssente nga bababuzaabuza nti balina ddoola, bakwatiddwa.
Kitegeezeddwa nti bwe babatuusa eyo nga babeefuulira nga babanyagako ssente nti era olusembyeyo, waliwo gwe banyazeeko obukadde 100!
Ekikwekweto kino, kikoleddwa ku kyalo Buwagi mu muluka gw'e Nawantumbi mu ggombolola y'e Nawanyago e Kamuli awagambibwa okuba ekibondo ky'abafere n'ababbi.
Omwogezi wa poliisi mu Busoga North , Samson Lubega, agambye nti baliko emisango mingi gye banoonyereza egizze giroopebwa.
Agasseeko nti era baliko ebizibiti bingi, bye babasanze nabyo ng'okubuuliriza, kugenda mu maaso.