TOWN Clerk wa munisipaali y’e Nansana, Festo Tandeka alabudde abakulu b’amasomero ga Gavumenti mu Nansana okukomya okusaba abayizi ssente ekintu kye yagambye nti kikontana n’ebiragiro bya minisitule.

Festo Tandeka ng'annyonnyola.
“Ndabula ba heedimasita okukomya ekikolwa kino, okuleka nga abaana mubasaba ssente zaakulya ate nga nakyo kirina kuyita mu kakiiko k’essomero olwo n’abazadde ne bamanyisibwa okusinga okugoba abaana ne basiiba mu makubo nti babanjibwa.” Tandeka bwe yayongeddeko.
Yalabudde n’abakulira amalwaliro mu Nansana, okukomya okukozesa bakiyambi kye yagambye nti kivuddeko ebikolwa ebibi nga ebyobuli bw’enguzi, okutunda eddagala n’ebirala.
Yategeezezza nga bwe yafuna okwemulugunya okuva mu balwadde ku nguzi esabibwa abasawo, n’agamba nti mu kunoonyereza kwe, gw’anaasa nga yeetaba mu bikolwa bino, agenda kuyimirizibwa ku mulimu era anoonyerezebweko.
Kyokka wadde biri bityo, Tandeka yalaze okusoomoozebwa kw’abasawo n’abasomesa okubeera abatono, kye yagambye nti kivuddeko emirimu egimu okutambula akasoobo mu bitongole eby’enjawulo.
Nansana erina amalwaliro okuli Nabutiiti Hc IV, Kasozi Hc IV ne Namulonge Hc III mu ggombolola y’e Busukuma, ate nga mu Nabweru balina Nassolo Hc III, Kawanda Hc II ne Maganjo Hc III.
E Nansana waliyo Nansana Hc II ne Nabweru Hc III ate nga mu ggombolola y’e Gombe waliyo Matugga Hc III, Tikalu Hc III, Buwambo Hc IV, Gombe Hc II ne Migadde HC III.