OMUKOZI mu ofiisi ya RDC e Kawempe bamusanze afiiridde mu buliri n’aleka abaffamire n’emikwano mu bibuuzo.

Jennifer Nassimbwa Omumyuka Wa RDC e Kawempe N'abamu Ku Bakozi Mu Ofiisi Ya Rdc Nga Boogerako Eri Abakungubazi E Masaka Omugenzi Gye Yazikiddwa (1)
Jennifer Nassimbwa omumyuka wa RDC e Kawempe yagambye nti Bwanika abadde mukozi ayagala omulimu ng’abaddewo ku mirembe gy’aba RDC ab’enjawulo okuli Yahaya Kakooza , Ssekabanja Edward , Fred Bamwine , omugenzi Alice Kagwa omugenzi Deborah Nabukenya , Dauda Kato , Hussein Hudu , Walugembe Juuko , Yasin Ndiide , Nalubega Mariam , Njuuki Mbabaali ne Kangenyi Luuka aliko kati .
Bwanika yaziikiddwa ku kyalo Nabulago mu muluka gw’e Kimanya mu ggombolola y’e Kabonera mu disitulikiti y’e Masaka