Amawulire

Dereeva wa bbaasi egambibwa okutomera eggaali y'omukka e Mukono akwatiddwa ne bamuggulako e misango 44.

Dereeva wa bbaasi egambibwa okutomera eggaali y'omukka e Wantone e Mukono n'etta n'okulumya abayizi b'essomero, akwatiddwa ne bamuggulako e misango 44.

Abadduukirize nga bataasa Bayizi
By: Godfrey Kigobero, Journalist @New Vision

Dereeva wa bbaasi egambibwa okutomera eggaali y'omukka e Wantone e Mukono n'etta n'okulumya abayizi b'essomero, akwatiddwa ne bamuggulako e misango 44.

Bbaasi weyatomerera eggaali y'omukka

Bbaasi weyatomerera eggaali y'omukka

Christopher Kikomeko agambibwa okuba nti yali avuga bbaasi ya kampuni ya Friendship eyali etambuza abayizi ba Mwebaza High School, y'akwatiddwa poliisi e Mukono. 

Akabenje kano, kaaliwo nga July 10 omwaka guno, omuntu omu bwe yafa ate abayizi  abawerako ne balumizibwa mu kabenje ako. 

Kasiringi nga esitula Bbaasi ya Friendship

Kasiringi nga esitula Bbaasi ya Friendship

Omwogezi wa poliisi y'ebidduka, Micheal Kananura, agambye nti bamuguddeko emisango omuli okuvugisa ekimama n'atta omusango gumu, okuvugisa ekimama n'alumya emisango 40, okutaataaganya n'okwonoona e ggaali y'omukka, n'emirala era wakusumbibwa mu kkooti essaawa yonna.

Tags:
eggaali y'omukka
Mukono
bbaasi
Friendship
Micheal Kananura