Akwatidde NUP bendera ku ky'Obwapulezidenti Robert Kyagulanyi Ssentamu ayuugumizza disitulikiti y’e Bundibugyo ng’anoonya akalulu.

Kyagulanyi ne Barbie bwe baabadde e Bundibugyo.
Kyagulanyi asinzidde wano n’ategeeza nga bw’atali mwetegefu kuwanika olw'abeebyokwerinda okumuliisa akakkanja n'abawagizi be nga babakuba emiggo, ttiyaggaasi, amasasi ssaako okumuggalira enguudo.

Abamu ku abaalinnye ebbaati okulaba Bobi eggulo ng'anoonya akalulu e Bunidbugyo
Kyagulanyi agambye nti buli abeebyokwerinda bwe bataataaganya abawagizi be wabeerawo okusika omuguwa kyokka we batabeera buli kimu kitambula bulungi nga bwe gubadde leero.
Bano abasuubizza okuzzaawo oluguudo lw’eggaali y'omukka, okutumbula ebyobulimi naddala ekirime kya kkooko n’okutondawo emirimu.