Ssentebe wa Katooke B mu munisipaali y’e Nansana Ying. Steven Kaweesa asekeredde abeesunga okuddamu okwetaba mu kulonda mu kitundu kino nga agamba nti ye yawangula mu lwatu ng’ensi yonna eraba era alinze kulayira.

Kaweesa n'abawagizi be nga bawaga
Kaweesa yalangirirwa ku buwanguzi bwa ssentebe ng’asinzeeko banne obululu bubiri bwokka ekyavaako abaali bavuganya okuwakanya ebyava mu kulonda kuno.
Kaweesa eyali munnakibiina kya NUP lukulwe yakyabulira ne yeesogga NRM ng’alumiriza aba NUP okumulyako ssente nga bamusuubizza okumuwa kkaadi y’ekibiina ku bubaka bwa munisipaali y’e Nansana..
Yategeezezza ng’ekitundu kye bwe kitayinza kubaamu kuddamu kulonda era n’alumiriza nga bwe waliwo abamulwanyisa okulemesa ekirooto kye okubaako omubaka wa palamenti.