Omuzungu Andrew Wilson agambye nti Besigye teyali mugezi kimala kumanya nti amubega nga ne bwe baamala okukwata abantu Besigye be yali atutte e Kisumu yasigala tawanika.
Ebigambo bya Wilson birese abantu ba Besigye beesoza ng’abamu banyeenya mutwe. Ono obutambi yabukwata ng’akozesa essaawa gye yali asibye ku mukono.
Agambye nti ne Frank Buliira eyavuganya ku bwapulezidenti mu kalulu akawedde yamanya ku ppulaani za Besigye okutta Museveni