MINISITULE y’ebyobulamu yaakwanjulira eggwanga mu butongole ebiragiro ebirina okugobererwa ku lunaku eggwanga kwe likolerako bulungibwansi.
Nakadama yagambye nti ebiragiro ebirina okugobererwa nga Bannayuganda bakola bulungibwansi buli Lwamukaaga olusembayo mu mwezi, byabaggyibwa dda minisitule y’ebyobulamu.
Ekiseera kyonna minisitule y’ebyobulamu egenda ku byanjulira palamenti mu butongole okusobozesa ababaka okulaba nga babinnyikiza mu bitundu bye bakiikirira.
Abadde ayanukula omubaka Hassan Kirumira (Katikamu South) abadde yeemulugunya ku muserikale Allan Okello okuva ku poliisi y’e Ndejje mu munisipaali ya Makindye-Ssaabagabo agambibwa okukuba owabbooda Ronald Kizito Jjuuko 38 essasi eryamuttirawo ku lunaku lwa bulungi bwansi nga 29 August, 2026.
Kirumira agamba, eno si yejja okuba enkola ey’okuyisaamu Bannayuganda kulunnaku lw’okulongoosa kubanga ebiragiro ebigobererwa tebimanyikiddwa.
Yeegatiddwako omubaka David Sserukenya (Makindye-Ssaabagabo) alambululide palamenti nti ekiseera we bakuubira Jjuuko essasi wali wabulayo eddakiika kkumi okuwera essaawa 1:00 ez’oku makya okulongoosa kulyoke kutandike.
Agamba nti Jjuuko yali tagaanye kulongoosa naye kigambibwa yalina ensonga etalinda nga mu kusembeerera omuserikale ono okumunnyonnyola yamukuba bukubi ssasi mu mugongo eryamuttirawo.
Basabye gavumenti enoonyereze ku nfa ye era ne basaba ffamire ye eriyirirwe kubanga tebalina bwe bali nga ne nnyumba nnamwandu n’abaana mwe bali yaakupangisa.
Nakadama abagumizza nga gavumenti bwe yatandise okukola okunoonyereza era mangu nnyo nga kuwedde waakwanjulira palamenti ku binaaba bizuuliddwa.