Amawulire

Akakiiko ka Statehouse kaagala ensonga z'abamusigansimbi zikolebweko mu bwangu

Akaakiiko k’omu maka gw’obwapulezidenti akavunaanyizibwa ku bamusigambi ka statehouse investors protection unit kaagala poliisi n’ekitongole ekiramuzi bakozese obwangu nga bakola ku nsonga za bamusigansimbi basobole okufuna obwenkanya.

Akakiiko ka Statehouse kaagala ensonga z'abamusigansimbi zikolebweko mu bwangu
By: Badru Mugenyi, Journalist @New Vision

Akaakiiko k’omu maka gw’obwapulezidenti akavunaanyizibwa ku bamusigambi ka statehouse investors protection unit kaagala poliisi n’ekitongole ekiramuzi bakozese obwangu nga bakola ku nsonga za bamusigansimbi basobole okufuna obwenkanya.

Bwabadde ku mukolo gw’okujaguza nga bwe giweze emyaka esatu bukyanga kakiiko kano katondebwawo Pulezidenti museveni, ssentebe waako col. Edith Nakalema agambye nti emisango egibalirirwamu obuwumbi 266 gikyalemedde mu kkooti.

Ayongeddeko nti  ne bamusigansimbi abasukka mu mukaaga bafiiriddwa eby’obugagga byabwe bbanka ne zibitwala oluusi ng’ensonga evudde ku kkooti kulwawo kubawa bwenkanya

Tags:
Amawulire
Pulezidenti
Kakiiko
Musigansimbi
Statehouse
Nsonga