GAVUMENTI eraze enteekateeka z'okutuusa omubiri gw'Omukama wa Tooro, Oyo eyakisa omukono wiiki ewedde.

Nnamunkanga egenda okusaabaza enjole ya Oyo okudda e Tooro yatuuse dda ku kisaawe e Ntebe.
Babalanda ategeezezza nti pulezidenti Museveni y'omu ku bagenda okwaniriza omubiri gwa Omukama era nga waakumukungubagira mu butongole ku kisaawe oluvannyuma omulambo guteekebwe mu nnyonyi gutwalibwe e Kyegegwa, mu Tooro.
Babalanda ategeezezza nti pulezidenti Museveni yalagira Omukama aziikibwe mu bitiibwa ebimusaanidde nga gavumenti y’ekulembeddemu enteekateeka z'okukungubaga n'okuziika.

Enteekateeka zonna zaamaze dda okuggwa!
Agamba ku lunaku olw’okuziika emizinga gyakukubwa eggye ly'eggwanga erya UPDF ng’akabonero akasiima Omukama by’akoledde eggwanga bwe yali akyali mulamu.
Minisita omubeezi avunaanyizibwa ku buwangwa n'ennono mu minisitule y'ekikula ky'abantu Mary Kuteesa Kamuli asiimye pulezidenti Museveni olw'omulimu gw’akoze okuyimirira nabo mu nteekateeka zonna wamu n'omuduumizi wa magye Muhoozi Kainerugaba eyeetema okuliisa abakungubazi.

Minisita Babalanda ng'annyonnyola
Kamuli ategeezezza nti nga 12 September lwe lunaku Omukama lw’ajja okuziikibwa mu kifo awaaziikibwa bajajja be ekimanyidwa nga Magasani ekisangibwa e Karambi wabula nga bajja kusooka kusabira omubiri gwe mu St. John's Cathedral e Fortportal.
Abantu basabiddwa okutuuka nga tezinnawera ssaawa 3:00 ez'oku makya. Omuhiikirwa wa Tooro Calvin Armstrong Rwomiire asabye Abatooro okusigala obumu mu kaseera kano akajjudde okusoomoozebwa era n’asaba abo bonna abalina ebibuuzo okuba abagumiikiriza okutuusa nga Omukama amaze okuziikibwa.